ab’ekibiina kya DP ky’ejje bategeeza nga bwebatamatidde nfa ya Muntu waabwe.
Ssenkaggale w’ekibiina kya DP Norbert Mao agamba ebikwata ku kabenje Namaganda mweyafiiridde kaliko ebibuuza bingi.
Mao aweze nga bwebaggya okuvaayo ne alipoota eyaabwe singa gavumenti tevaayo na alipoota nambulukufu kun fa ya Namaganda.
Mao yegatiddwako taata w’omugenzi Wasswa Mugenyi ayagala okumanya ekyavuddeko akabenje kano.
Mungeri yeemu ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu Buganda Godfrey Kiwanda ,asabye abalonzi okuwa bannabyabufuzi okubakiikirira obulungi nga tebabatadde nyo ku ninga.
Kiwanda agamba abalonzi bateeka akazito ku bakiise baabwe ekibaviirako okukola oluusi ebitasoboka.
Agamba kyannaku okuba nti omugenzi y’abadde atambula mu budde bw’ekiro okusobola okutuuka mu kibuga asobole okukeera adde e Bukomansimbi.
Ye bba womugenzi Fred Mukas Mbidde ategezezza nga mukyalawe bw’abadde yakasimatuka obubenje 3 omwaka guno gwokka.
Mukasa Mbidde aweze obutawummula okutuusa ng’azudde ekyavuddeko akabenje kano.
Ye mubaka munne Medard Lubega ssegona ayagala gavumenti ayongere okulongoosa ku malwaliro n’okugateekamu ebikozesebwa okutaasa abantu naddala ababa bagudde ku bubenje.