Omusajja abadde yakamala emyaka munaana mu kkomera oluvanyuma lw’okusibwa amayisa kyaddaaki eyimbuddwa
Misanch Beyaka nga mutuuze ku kyaalo Myaniko e Bushenyi yasingisibwa omusango gw’obutemu kkooti ye Mbarara era n’asibwa mayisa mu mwaka gwa 2008.
Wabula olwaleero, abalamuzi abasatu abakkooti ejulirwaamu okubadde Remmy Kasule, Solomy Barungi Bbosa ne Kenneth Kakuru agambye nti omulamuzi we Mbarara yesigama ku bigambo bye okukkiriza omusango nga tekuliiko obujulizi bulala bwonna
Abalamuzi bagambye nti omulamuzi we Mbarara teyafa ku bbaluwa ya basawo eyatwalibwa mu kkooti ng’eraga nti omusajja ono yalina ebiwundu ebyamutuusibwako nga bamutulugunya okusobola okumukaka okukkiriza omusango.
Omusajja ono yali avunaanibwa kutta bantu bana n’abateekera omuliro.
