Abadde akulira olukiiko lw’ekittavvu ky’abakozi ekya NSSF Ivan Kyayonka afudde.
Kyayonka afiiridde mu ggwanga lya Kenya gyeyaddusibwa oluvanyuma lw’embeera okutabuka
Ono nno era yakulemberako kkampuni ya VIVO energy emanyiddwa nga Shell okumala akabanga.
Yye amyuka amyuka akulira atwala kkampuni ya NSSF Geraldine SSali agambye nti baakoma okulaba omugenzi ku bbalaza ng’egenze okukola era nga taliiko mutawaana okutuuka ate leero lwebafunye amawulire g’ennaku.
Ssali agamba nti bakwataganye n’abenganda z’omugenzi okulaba engeri y’okuzzaamu omulambi
Bbo bannabyabusuubuzi bakungubagidde Kyayonka gweboogerako ng’abadde omusajja omukozi
Akulira bannekolera gyange Gideon Badagawa agamba nti Kyayonka atadde ettofaali lya maanyi ku byobusuubuzi mu Uganda era tebajja kumwerabira.
Yye akulira Vivo Energy eyasikira omugenzi Hans Paulsen agamba nti amawulire g’okufa kwa munaabwe kubakubye wala