Ssenkaggale w’ekibiina kya CP John Ken Lukyamuzi ayagala okulonda kwa 2016 kuyimirizibwe
Ataddeyo omusango mu kkooti enkulu ng’alumiriza akakiiko akalondesa okuwandiisa ab’ekibinja ekikulemberwa Daniel Walyemera ate nga tebabamanyi
Lukyamuzi yegasse wamu ne ssabawandiisi we Ssemusu Mugobansonga n’alumiriza akakiiko akalondesa olw’okubayisaamu amaaso mu ngeri eyinza okubuzabuuza abawagizi ba CP.
Bagaala kkooti eyimirize akakiiko akalondesa okutegeka okulonda okutuusa ng’ensonga za CP zikoleddwaako.
Kkooti yakulangirira olunaku kw’enawulirizaako ensonga eno