Skip to content Skip to footer

Abakyala batabuse ku mateeka

Ab’ebibiina by’abakyala mu ggwanga bavumiridde ekya Palamenti olw’okuyisa enongoosereza mu tteeka erikwata ku by’okwesimbawo n’okulonda kwa Pulezidenti n’ababaka mu Palamenti.

Kati abaagala okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bateekeddwa okusasula obukadde amakumi abiri okuva ku bukadde bwa silingi munaana eri ab’akakiiko k’ebyokulonda, ate abaagala okukiika mu Palamenti baakusasula obukadde bwa silingi busatu okuva ku mitwalo abiri.

Abakyala abeegattira mu mukago gwa Uganda Women’s Network, Action for Development, Centre for Women in Governance, n’abava mu bibiina by’obufuzi beerayiridde okulwanyisa etteeka lino.

N’ab’omukago gwa bulaaya bavumiridde okukulembeza ensimbi mu by’obufuzi nga bagamba kino kyanditta empeereeza y’emirimu

Bano bagamba nti kati abantu bakwewola ensimbi okussa mu byobufuzi kyokka ate bagaale okuzijjayo nga batuuse mu ma wofiisi

Leave a comment

0.0/5