
Poliisi eriko omusajja gwekutte lwakwokyera abaana 5 mu nyumba.
Aberabiddeko n’agaabwe bategezezza nga omusajja ono ow’emyaka 30 amanyiddwa nga Denis Okema bweyamansizza petuloli mu kasiisira omwabadde mwebase mukyalawe n’abaana baabwe n’akatekera omuliro.
Bino byabadde ku kyalo Opok A mu disitulikiti ye Nwoya district.
Ye omukyala Beatrice Akello 24 y’asobodde okwemulula n’adduka n’ebisago ebitonotono nga era ali mu ddwaliro lya St Mary’s Hospital Lacor e Gulu.
Ababiri ku baana bano babadde baana baabwe mu bufumbo sso nga abalala 3 babadde banganda ba Okema.
Abagenzi baategerekese nga Welborn Onen 6,omuwala ow’emyka 4 Aber n’abalala okuli Lily Ajok 17, Sarah Acayo 15, ne Boniface Rubangakene ow’emyaka 6.
Aduumira poliisi mu bitundu bya Aswa Wilson Kwanya ategezezza nga omusajja bwebamukutte dda nga era wakugulwako gwabutemu.