
Abamenyi b’amateeka gokunguudo abasoba mu 400 bebayoleddwa mu bikujuko by’okumalako omwaka okwetololola eggwanga.
Akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Dr Steven Kasiima ategezezza nga abantu 6 bokka bebafiridde mu bubenje wakati wa nga 31st December ne nga 1 January.
Kasiima agamba emmotoka 384 zezayoleddwa nga ziganyegenya.
Obubenje okukendeera akitadde ku basajja baabwe bebayiye mu bungi ku nguudo wamu n’okusomesa bannayuganda ku mateeka gokunguudo.