Bya Ivan Ssenabulya
Omumyuka womukubiriza wa palamenti Jacob Oulanya avumiridde ebikolwa, byokutulugunya ababak bwebaali bakwatibwa mu kulonda kwa munispaali ye Arua.
Ono ye mukugungu wa gavumenti eyavuddeyo mu lwatu, okuvumirirra engeri ababak bano gyebayisibwamu ebitongole ebikuuma ddembe.
Oulanya akyaliddeko omubaka wa munispaali ye Mityana Francis Zaake ku ddwaliro e Rubaga, ngasoose kutukako ku nkambi yamagye e Makindye omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi gyagliddwa.
Oulanya agambye nti kinakuawaza okulaba ngokujuza ekiffo kyomubaka Ibrahim Abiriga, ate kuleese obulumi obwamanyi eri abantu abawerako.
Avumiridde ebikolwa byokulwanagananga mu kulonda, kyagambye nti kigenda kutekawo okutya mu bantu ku kulonda okunaddamu okuberawo.
Agambye nti awatali kubusabuusa, ababaka bano bali mu bulumi, naye abasawo bagamba tebanazula kyamanyi nnyi ekikanga ku bulumi bwabwe.
Speaker Oualanya abadde awerekeddwako omubaka wa Kampala Central Muhamad Nsereko, Joseph G. Ssewungu, Moses Kasibante nabalala.