Bya Samuel Ssebuliba.
Omukulembeze we gwannga YKM nate azeemu n’awandika ebaluwa endala nga ayanukula kubizze bibaawo mu gwanga, nadalala oluvanyuma lw’okukwatibwa kwa Hon .Robert Kyagulanyi.
Mubaluwa gyeyakasembayo okuwandiika, ono akyukidde ebitongole ebikuuma dembe n’abinenya olw’okukozesa amaanyi agayitiridde mukukakanya abantu abaali bekalakaasa wano mu Kampala ku Monday.
Ono ategeezeza egwanga nti abavubuka abaali bekalakaasa ku Monday baali bakozesa enkola ey’okwokya ebibiira nga bwebabiteeka ku mikutu gya Social media , nga omulamwa kulaga gwanga nsi yonna nti Uganda ejudde emitawaana.
Wabula ono agambye nti bano abavubuka baali tebeetaga kukuba masasi , oba okukozesa tear gas omukambwe, kubanga bano baali basobola okugobwa kubigere, oba okweyambisa enyonyi okubalondoola nokubakwata
Kati ono agambye nti ebyakolebwa byonna abivumirira, era nalagira ebitongole ebikuuma dembe okulondoola banamajje ne police abaali emabega waakino.
Kati ono alagidde okunonyereza kukolebwe kwaabo abaakubwa , n’abaafirwa abantu baabwe government esobole okubayamba.