
Poliisi ye Ibanda eriko omusajja ow’emyaka 20 gwekutte lwakutta nyina ow’emyaka 57 n’amuziika mu lusuku lw’amatooke.
Okunonyereza kwa poliisi kulaze nga David China bweyakubye nyina Colombo ekiti ku mutwe n’amutta.
Akulira okunonyereza klu buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Ibanda Grace Devis Pande agamba bagenze okuzikula omulambo nga gwegwanyina gwenyini.
Tekinategerekeka lwaki omusajja ono y’asse nyina naye nga wakusindikibwa mu kkooti avunanibwe.