
Eggwanga lya Saudi Arabia lisazizamu enkolagana yaalyo n’eggwanga lya Iran oluvanyuma lwa Saudi Arabia okuttira ku kalabba omukulembeze w’abashia nga kino kyekiwayi ky’abasiraamu abasinga obungi mu ggwanga lya Iran.
Minisita wa Saudi Arabia ow’ensonga z’ebweru Adel al-Jubeir y’alangiridde kino oluvanyuma lw’abekalakaasi okulumba ekitebe ky’eggwanga lya Saudi Arabia mu Tehran mu kwekalakaasa.
Sheikh Nimr al-Nimr ne banne abalala 46 basaliddwako emitwe oluvanyuma lw’okubasingisa emisango egyekuusa ku butujju.
Jubeir kati alagidde abakungu ba Iran bonna okwamuka eggwanga lyabwe mu ssaawa 48 zokka.