Skip to content Skip to footer

Enkoko ebatabudde

File Photo:Enkoko nga ziri mu kiyumba
File Photo:Enkoko nga ziri mu kiyumba

Waliwo omusajja agudde ku mukazi we n’amunyola ensingo kumpi kwagala kumutta ng’amulanga kugenda waabwe n’atakomawo na nkoko.

Rema Nalweyiso omutuuze we Makindye Luwafu amaze ne bba emyaka 4 era ng’abadde agenda ewaabwe era n’adda n’enkoko kyokka nga ku luno teyareese

Omusajja ono ategerekese nga John Mulumba yalumirizza mukyala we obutatuuka waka era okukkakkana ng’olutalo kasiggu lubaluseewo.

Omukyala ono Nalweyiso gwetusanze ku kitanda e Mulago atugambye nti bulijjo kituufu adda n’enkoko kyokka nga ku luno teyasangayo zikuze

Abasawo bamaze okumwekebejja nga balina okutya nti yandiba n’obuvune munda olw’okuvaamu omusaayi omungi mu kamwa.

Leave a comment

0.0/5