Entiisa ebuutikidde abatuuze be Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi bwebagudde ku munaabwe nga yetugidde ku muti lwakitaawe kumumma ttaka.
Godfrey Nalisita omutuuze ku kyalo Butanga y’asangiddwa nga yetugidde ku muti gwa ffene emanju w’amaka gabakadde be.
Okusinziira ku taata w’omugenzi John Ntambazi , mutabaniwe yali yamutiisa nti singa tamwawuliza ku kibanja wakwetta ye nabiyita eby’olusaago.
Agamba Nalisita yali ayagala kibanja awase oluvanyuma lw’okujja e Kampala okutandika bizinesi nebigaana nga kitaawe yali ayagala agira amuyambako mu nnimiro.
Aduumira poliisi yebukiika ddyo Maxwell Ogwal avumiridde kino n’awa abavubuka amagezi okwekolera mukifo ky’okulowoleza mu bintu byabakitaabwe.