Gavumenti etereddwa ku ninga ekyuuse mu mateeka g’okujanjaba siriimu buli mulwadde asobole okujanjabibwa awatali kulinda bya cd4s okulinya.
Mu lukungaana lw’okukubaganya ebirowoozo wano mu kampala, akulira ekibiina ky’ebyobulamu ekya Health Gap ono nga ye Asia Russen ategezezza nti omuntu olukeberebwa n’azulibwa nti alina siriimu alina okutandika eddagala ekitagobererwa wano mu Uganda.
Agamba ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kyakakasa amateeka gano amapya wabula Uganda ekyekululu sso nga basobolera ddala okuwa abalwadde obujanjabi bwebetaaga awatali kusooka kutunulira CD4 zaabwe.
Kati okusinziira ku bino bano baagala buli gwebazuula nti alina siriimu ajanjabibwa awatali kulinda CD4s kulinya Uganda bweba yakumalawo siriimu omwaka 2030 wegunatuukira.