Abalangira b’ekika kyaba wakooli okuva mu ssaza lye Bukooli balangiridde nga bwebajja okukyankalanya emikolo gy’amatikkira gya Kayabazinga we Busoga William Nadiope ag’okubeerawo nga Sept 13.
Abalangira bano balumiriza Kyabazinga Nadiope okukolagana neyewangamiza ku bukulu bw’essaza lyabwe nga entebe yaginyakula kuva ku mulangira David Kibubuka.
Mu lukungaana klwebatuddemu abalangira bano bagambye David Kawunhe Wakoli atuula ku lukiiko lw’obwakyabazinga okukiikirira essaza lye Bukooli ssiyemukulembeze waabwe omutuufu.
Bagamba nti Kyabazinga Gabula nga ayita mu Katukiro Joseph Muvawala yawandikira Kawunhe ebbaluwa emuyita ku mikolo gy’amatikira sso nga ssiyemukulembeze w’essaza omutuufu kale nti kikafuuwe emikolo gino okugenda mu maaso.
Bano baweze okuteeka emisanvu mu kitoogo kye Egogero ku nsalo eyawula disitulikiti ye Bugiri ku Iganga.