
Ab’ettendekero ekkulu e Makerere bakuddamu okutuula olunaku lw’enkya okusalawo ku ky’abayizi okusasula fiizi zonna mu sabbiiti mukaaga ezisooka mu lusoma .
Amakya galeero abayizi bakedde kwekalakaasa nga bawakanya etteeka lino nga bagamba nti linyigiriza omwana w’omunaku.
Mu nsisisnkano gyebabaddemu amakya galeero, ab’olukiiko olutwala ettendekero lino bategezezza nga bwebagenda okutula nabuli gwekikwatako okutuuka ku nzikiriziganya.
Akulira abayizi David Bala wabula asanze akaseera akazibu okumatiza abayizi okukkakana nga enteseganya bwezigenda mu maaso abaweze okugenda mu maaso n’okwekalakaasa.