Gavumenti esabiddwa okussa ebikozesebwa mu masomero gasobole okusomeseza abaana ku nkola z’omulembe nga bwekiri mu mawanga agaakula
Okusaba kukoleddwa ssenkulu w’ettendekero lya Virtual University mu Uganda omulamuzi Flavia Senoga Anglin agamba nti keekadde abayizi bayige nga bayita ku kompyuta okwewala okutambula nga buli lunaku.
Bino Senoga abyogeredde ku mukolo gw’okutikkira abayizi abasoose okutikkirwa nga babadde bakozesa kompyuta okufuna eby’bisomesebwa n’okubiddamu ku ttendekero lya Virtual Yunivasite.
Abatikiddwa bafunye satifikeeti, dipulooma, diguli ne Masters ku ttendekero lyaabwe erisangibwa e Muyenga