Skip to content Skip to footer

Aba NRM bagenze mu lusirika

Bya Ivan Ssenabulya

Olukiiko lwa NRM olwa Central Executive Committee, lutudde amakya ga leero ku Chobe Safari Lodges, ngensonga mpitirivu, eziri ku mwanjo ezokutesebwako.

President Museveni yagenda kukubiriza olusirika luno, olugenda okukulungula ennaku 6.

Omwogezi wa NRM Rogers Mulindwa akakasizza nti ebimu ku bigenda okukolebwa kwekukola ennongosereza mu ssemateeka wekibiina, ate nokulambula polojekiti za gavumenti ezenjawulo.

Bino webijidde nga palamenti yakajja ebanje gavumenti okuleeta ennongosererza mu ssemateeka we gwanga.

Leave a comment

0.0/5