Skip to content Skip to footer

Abasoba mu 100 bakwatiddwa

Poliisi eriko abantu 198 bekyagalidde bano nga baabadde bagezaako okutabangula emirembe mu ntujjo ya KCCA eya Kampala city carnival eyabaddewo olunaku lw’eggulo .
Bano kuliko abasazi b’ensawo,abanyakuzi b’obusimu ssako nebamuliisa maanyi.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga abaserikale abasoba mu 1000 ku bbinu lino bwebayambye okukwata abamenyi b’amateeka bano.

Agamba kati bakusunsula bonna bebakutte okugyamu ddala abaakwariddwa lubona abatalina misango bayimbulwe.

Wabula Enanga ategezezza nga okutwaliza awamu entujjo bweyatambudde obulungi awatali buzzi bwamisango bwamaanyi

Leave a comment

0.0/5