Skip to content Skip to footer

Kiyongobero mu maka ga minisita Mutende

Embeera ya kiyongobero mu maka g’abadde minisita w’ebyamakolero, James Mutende.

Abakungubazi bakyakungaanidde mu maka gano wali e Lukuli .

 

Zzo  enteekateeka z’okuziika omugenzi zifulumye nga era omulambo gwakutwalibwa mu palamenti ku lunaku olwokusatu.

Okusinziira ku minisita w’ebyamasanyalaze Iren Muloni  omugenzi era wakusabirwa ku kanisa ya All Saints ate ku lwokuna bamusabire ku kisaawe kya Cricket e Mbale nga era ku lunaku lwelumu wakukubibwako eriiso evvanyuma ku ssomero lya Mafudu Primary school.

Omugenzi wakuzikibwa ku lunaku olwomukaaga  mu disitulikiti ye Sironko.

Mutende y’afudde ku olwomukaaga oluwedde mu maka ge e Lukuli.

Leave a comment

0.0/5