Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao tanasalawo ku ky’okwesimbawo ku bukiise bwa palamenti obwa municipaali ye Gulu mu kulonda kw’omwaka ogujja.
Mao agamba abantu bangi bazze bamusaba yesimbewo wabula nga akyayagalayo obudde okwebuuza ku kibiina kye.
Mao agamba okudda kwe mu palamenti kyandimalamu banne ababadde batunulidde ekifo kino amaanyi ekintu kyatayagala.
Mao yaliko omubaka wa municipaali ye Gulu. N’afuuka ssentebe wa disitulikiti oluvanyuma n’alya obwa ssenkaggale bw’ekibiina kya DP.