Ekibiina ekidduukirize ekya Red Cross kitegeezezza nga ababundabunda abasoba mu 3,000 bwebasaze ensalo okuva mu South Sudan nebayingira mu Uganda.
Bano okuyingira bayisse mu district ye Adjuman .
Ayogerera ekibiina kino Catherine Ntabadde , atubuulide nti bano bonna mu kaseera kano bali mu nkambi ye Zapi mu disitulikiti ye Adjumani,wabula nga abaliyo kati bawezze 30,000 .
Yoomu agamba nti distikuliti nga Koboko ne Arua ababundabunda abasukka mu 10,000 bebaakayingira bukyanga lutalo lubalukawo mu south Sudan.
