Skip to content Skip to footer

Abantu 20 bebafudde ku Easter

Bya Ritah Kemigisa

File Photo: Onyango ng’ yogeera

Poliisi etegezeza nti abantu 20 bebafudde mu bikujjuko bye nnaku enkulu eza Easter.

Bwabadde ayogera ne banamawulire ku CPS mu Kampala, omumyuka womwogezi wa poliisi mu gwanga Patrick Onyango ategezeza nti abantu 8 batemuddwa, ngabasirikale ba poliisi 4 bafiridde mu kabenje e Maya ku luduudo lwe Masaka, abantu 2 bafiridde mu mazzi mu Nyanja Victoria  ku mwalo gwe Kagoromoro mu Wakiso ate abanatu 3 nebakubwa laddu mu district ye Mayuge.

Kitegezeddwa nti omuntu omu yesse ate 3 babalungidde butwa mu district ye Amuria.

Obutemu bwabadde mu district ye Kampala, Busia, Adjumani, Buku, Kyotera, Kotido ne Kabong.

Leave a comment

0.0/5