Skip to content Skip to footer

Nambooze bamututte mu kooti

Bya Ruth Anderah

Omubaka owa munispaali ye Mukono Betty Nambooze avunaniddwa mu kooti e Nakawa emisango gyokukuma omuliro mu bantu.

Nambooze okumutuusa mu kooti bamuletedde mu Ambulance, okuva ku kitebbe kyabambega ba poliisi e Kibuli gyeyabadde ayaitiddwa.

Nambooze  tasobodde kuyingira mu kaguli, olwembeera ye ngatambulira mu kagaali, olwobuvune bweyafuna natwalibwa ne bweru okujanjabibwa.

Wabula omulamuzi Noah Sajjabi amukirizza okweyimirirwa, ku kakalu ka bukadde 5 ezitabadde za buliwo.

Ate abamweyimiridde bakusasula obukadde 10 ezitabadde za buliwo, nga wakudda nga 27th omwezi ogujja.

Oludda oluwaabi olukulembeddwamu Deborah Itau, Nambooze nga 9th June 2018 alina byeyawandiika ebyakuma omuliro mu kutibwa kwomubaka we Arua Ibrahim Abiriga.

Leave a comment

0.0/5