Skip to content Skip to footer

Omukazi asse omwana we lwabutamuwa buyambi

Bya Sadat Mbogo

Poliisi mu district ye Mpigi eriko omukazi owemyaka 30 gwegalaidde, nga kigambibwa nti yakidde omwana we owemyaka 6 naamutta.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Katonga, Philip Mukasa agambye nti bakutte Saudah Namugambe, ngono mutuuze ku kualo Nabusanke, ngokunonyererza kukyagenda mu maaso.

Kati omukazi ono ategezeza poliisi nga bweyasse omwana we gweyezaliira, kubanga abadde tafuna buyambi okuva ewa kitaawe.

Leave a comment

0.0/5