Bya Gertrude Mutyaba, Magembe Sabiiti ne Barbra Nalweyiso
Omusumba w’essaza lye Masaka John Baptist Kaggwa asabye abakkiriza obutajaajamya mibiri gyabwe, wabula bajiwe ekitiibwa mu kiseera kino eky’ekisiibo.
Omusumba Kaggwa asinzidde ku lutikko e Kitovu mu missa gyayimbye, eggulawo obudde bwa Kalema.
Agambye nti abantu bangi bakozesa emibiri
gyabwe ebintu ebitasaanidde era ebitasanyusa Katonda.
Wano omusumba era asabye egwanga lya Uganda ne Rwanda okwekubamu tooki bazze bugya enkolagana yaabwe, bave mu mpalana wakati wabwe.
Ate abakiriza basabidwa okusabira enyo egwanga mu kisiibo kino.
Bishop Anthony Zziwa owe ssza lya Kiyinda Mityana yakubirizza abakulisitaayo, bwabade ayimba misa.
Yye bwannamukulu wekigo kya our lady of Fatima e Mubende Fr Emmanuel Mwerikande, asabye abakirisitu okuyamba abali mu bwetavu mu kisiibo, ate bewale ebikolwa ngettamiiro, obulyake nebiralala.
Father Mwerikande naye abadde mu misa etandise ekisiibo amakya ga leero.