WAKALIGA
Bya Ivan Ssenabulya
Wabaddewo okulwanagana mu biwayi byaba Boda Boda wakati wa Boda Boda 2010 naba Century, wali e Wakaliga, nga poliisi eyitiddwa bukubirire okutaasa embeera.
Bano bekubye emiggo egitagambika, okutuusa poliisi lwebaguddemu nebabuna emiwabo, nga amasasi gakubiddwa mu bbanga okubagumbulula.
Kitegezeddwa nti abekiwayi kya Cebutury bakede, nga balina entekateeka okulayiza abakulembeze baabwe, wabula poliisi nebagaana okukungaana kuba tebafunye lukusa, ekivuddeko olutalo nebalumba owa 2010 gwebabadde balumiriza okubekwekamu.
Aba 2010 abalala bazze, mu kibinja okutaasa banaabwe, ekivudeko olutalo.
Ebiwayi byombi bilabiddwako nga bikwataganye namajambiya, ebitittiriri, enkumbi, nebyokulwanyisa ebiralala.