Bya Derrick Wandera
Abakulembeze be ddiini abegattira mu kibiina kya Christian Ecumenical Council of Uganda, badukidde ewa minister wempisa nobuntu bulamu Fr Simon Lokodo nebawawabira aba Inter-religious council of Uganda, olwa kyekubiira.
Bano nga bakulembeddwamu Fr Jacinto Kibuuka owenzikiriza, ya Orthodox Evangelical bagamba nti bagaana okubagatta amu kibiina kyabwe.
Kati Fr Lokodo asubizza okutunula mu nsonga zaabwe.
Enzikiriza 8 zezegattira mu mukago guno nga kuliko Evangelical Orthodox Church, Orthodox Anglican Church, World Wide Church, Charismatic Episcopal Church, Brazilian Catholic Apostolic Church, Universal Peace Federation ne Anglo Catholic Church.