Bya Ritah Kemigisa
Poliisi ekutte abadde yefuula akulira ekitongole ekivunanyizibwa kuba musiga nsimbi ekya Uganda Investment Authority.
Mu lukungaana lwabanamawulire olwawamu amyuka omwogezoi wa poliisi mu gwanga Polly Namaye agambye nti ono tebajja kumwatukiriza mannya, olwokunonyererza okukyagenda mu maaso, wabulanga ali mu kaddukulu ku CPS mu Kampala.
Namaye ategezeza nti ono webamukwatidde nga bamufunyeko okwemulugunya kwa mirundi ebiri 15.
Akulira ekitongole kino Jolly Kaguhangire agam,bye nti okuviira ddala mu mwezi Ogwomukaaga ono abadde aliko abantu basindikira email okukutula emirimu gyebyobusubuzi, wabulanga abafera.