Bya Ben Jumbe
Minister akola ku mpisa kko n’obuntu bulamu Rev Father Simon Lokodo, avumiridde enkola ey’abavubuka okweyisanga nga mungeri eyakavuyo, nebatuuka n’okudanga kumakubo okwekalakaasa nga baliko ebibanyiga.
Ono okwogera bino kidiridde okwekalakaasa okubadde kubunye Uganda yonna , nga abantu bekalakaasa olw’okukwatibwa kw’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi.
Lokodo agambye nti abavubuka nga bano bagwana babeeko engeri ey’emirembe gyebayitamu okutuusa ensonga zaabwe, sosi kudda kumakubo kwekalakaasa
Wabula ono mungeri yeemu alumbye ebitongole ebikuuma dembe, byagambye nti bino bitandise okukozesa amaanyi agateetagisa nga bikakanya abantu nga bano.