Bya Ali Mivule
Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga Micho Sredejovic ayungudde ttiimu kabiriiti egenda okuttunka n’eggwanga lya Cape Verde n’okuzanya emipiira gy’omukwano.
Mu bano kuliko abakwaasi ba goolo 2, abazibizi 5, abawuwuttanyi 6 n’abateebi 5.
Abaalondeddwa kuliko Ismail Watenga, Murshi Juuko, Khalid Aucho, Farouk Miya n’abalala nga ye kapiteeni Denis Onyango asuubirwa okwegatta ku ttiimu gyebujja.
Mungeri yeemu Cranes esuubirwa okusitula okugenda Ethiopia akawungeezi kaleero okuzanyamu ogwomukwano.
Batabani ba Micho baakuzanya Cape Verde ku lwomukaaga nga 10 June 2017 mu kibuga Praia.