Bya Shamim Nateebwa
Ate abadde yakagula pikipiki nga asaaliza bavubuka banne mubitundu bye Mubende takyagadde bwatemeddwa ejambiya kumutwe olulimi nelufuluma.
Robert Magala mukiseera kino tasobola kwogera olwokuba olulimu lwafulumye nga n’embeera ye yelarikirizza olwokuba yavuddemu omusaayi munji sso nga n’abantu bbe babadde tebanajja.
Ono yaletedwa poliisi nga alina akapapula akamwogerako nti ye Robert Magala atemera mugyobukulu 35 era nga mutuuze we Mityana town council.