Bya Samuel Ssebuliba
Waliwo ekibinja ky’ababaka ba palamenti abatadde kuninga minisita akola ku bigwa tebiraze Hilary onek n’omumyukawe Musa Ecweru nga baagala bogere engeri gyebaakozesaamu obuwumbi 24 ezaali ez’okusengula abantu okubajja mu nsonzi ze Buduuda, kyoka nakakano mpaawo kyali kikoledwa.
Bano okubadde owe Mbale municipality’ Jack wamayi wamanga,owe Manjiya JohnBaptist Nambeshe now’e Ngora David Abala bagambye nti kubuwumbi buno bwonna munaana bwokka bwebwaakosebwa , kale nga bagwana banyonyole oba sikkyo balekulire
Wabula gyebuvudeko omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni, bweyabadde akyadeko e Bududa yeetonze olw’okulwawo okusengula abantu bano, kyoka naagamba nti kino kivudde ku banabyabufuzi abaaleesa omulimo guno okwanguwa