Bya Samuel Ssebuliba.
Minisitule ekola kubigwa tebiraze etegeezeza nga alipoota ekwata kukutundibwa kwabannayuganda nga abaddu mu mawanga ga Buwarabu bwegenda okufuluma mu November.
Kinajukirwa nti wabadewo ebiyitingana nti mu Mawanga gano waliyo obutale bannayuganda gyebatundibwa nga abaddu, kale kino kyawalirizza government ya Uganda okusaawo akakiko kabantu mukaaga okwetegereza ensonga eno.
Twogedeko naayogerera ministry ekola ku nsonga z’amawanga amalala Moses Kasujja,nagamba nti Alipoota eno ewedde era mu November yakufuluma.