Bya Samuel Ssebuliba.
Abadde Nankukulu w’ekibuga Kampala omukyala Jenifer Musisi aliko ekiwandiiko kyawandiikidde mukamaawe era omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni nga amutegeeza nga bwagenda okulekulira ekifo kino obutasukka December nga 15 omwaka guno.
Mu baluwa ono gyeyawandiise olunaku lweggulo nga 15th October, Musisi yalaze nga bwakooye okukola omulimo gwa Nankulu wekibuga, kale nga agenda kuwumula.
Mu nsonga zawadde agambye nti gavumenti temuwa ssente zimala, obutawagira aboludda lwabakulembeze abalonde nebiralala bingi.
Mubbaluwa eno Musisi alambuludde byakoledde ekibuga omuli okutendeka abakozi abalina empisa, okutereeza amakubo agayingiza ensimbi, nga kwogasse n’okulabirira obulungi eby’obugaga by’ekitongole kino
Ono agamba nti weyajjira mu 2011 okutuuka mu 2018 , omusolo gwebakunganya gukuzze n’ebitundu 198% okuva ku buwumbi 30 mu 2011-2012 okutuuka ku buwumbi 89.4 mu 2016-2017 newankubadde zakakanyeemu n’ebitundu 165% wakati wa 2017- 2018.