Skip to content Skip to footer

Ow’emyaka 6 bamusaddaase

Bya Abubaker Kirunda

Mu disitulikiti ye Mayuge  omulenzi ow’emyaka 6 amazze ennaku nga abuze omulambo gwe gusangiddwa nga gutemeddwako omutwe nga n’ebitundu by’ekyama tekuli.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi  ategezezza nga omulambo gwa  Juma Muyita bwebagusanze nga gusuuliddwa mu ssamba y’ebikajjo ku kyalo Musita mu gombolola ye Baitambogwe.

Omugenzi mutabani wa  Issa Muyita ne  Aisha Nangobi abatuuze ku kyalo  Kalita e Iganga naye nga bbo babeera wano Kawempe mu kampala.

Abatuuze bategezezza nti embwa zibadde zisikasika ekiwudduwuddu okukibwebwena kwekutemya ku poliisi ezze n’ekizuula nti omwana gwebabadde banoonya y’ono eyasaddakiddwa.

Wabula ye taata poliisi y’amze dda okumukwata nga omu ku bateberezebwa okutta Muyita.

Leave a comment

0.0/5