Bya Ali Mivule
Yadde nga Uganda cranes yawangudde omupiira gwayo ogw’ekibinja ogusooka mu kusunsulamu abanetaba mu za Africa eza 2017 ezinayindira mu Cameroon , omutendesi wa ttiimu Micho Sredejovic alabudde abazanyibe obuteyibaala nti baayiasemu dda.
Micho okwogera bwati nga Uganda ky’ejje erumbe Cape Verde omwayo n’egikubirayo goolo 1-0 eyateebeddwa Geofrey Sserukuuma mu ddakiika 83rd .
Micho agamba okuwangula omupiira ogusooka buwanguzi bwamanyi wabula tekitegeeza nti ttiimu yayiseemu dda kubanga wakyaliyo emipiira emizibu mingi mu kibinja.
Wabula Micho agamba ayagala kulaba nga ttiimu ekozesa obuwanguzi buno okuwangula emipiira emirala.
Okusinziira ku Micho Cranes kati erina kutunulira zakusunsulamu ez’ensi yonna mu Russia 2018 n’ezabazanyira ku butaka eza CHAN .
Mu kusunzulamu abanetaba mu za Africa Uganda ezzako baliraanwa aba Tanzania bebejja okukyaza mu kisaawe e Namboole.