Bya Ali Mivule
Ttiimu y’eggwanga the cranes bakomyewo okuva mu ggwanga lya Cape verde.
Ttiimu etonye ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe amakya galeero ku ssaawa 9 ez’ekiro.
Nga baakatuuka boogeddeko eri bannamawulire nebabategeeza byebayiseemu mu Cape verde n’egeri gyebasobodde okukubamu banyinimu 1-0.
Omutendesi wa ttiimu Micho Sredejovuc y’asiimye obumu obwayoleseddwa abazanyi be.
Ye kapiteeni wa ttiimu era omukwasi wa ggoolo Dennis Onyango agamba abazanyi okuzanya nga ekitole kyakuyambira ddala ttiimu eno era ssinga bongera okuzanyira awamu bakowngera okuloza ku buwanguzi.