Olukiiko lwa Buganda lwakutuula olunaku olwalero okusomerwa embalirira y’omwaka gwebyensimbi oyomwaka gwa 2015/2016.
Omwaka gwebyensimbi oguwedde obuganda bwatambulira ku mbalirira ya buwumbi 7 era nge ensimbi zino zasinga kuva mu kitongole kya Buganda eky’ebyettaka ekya Buganda land board,ekitongole kya nkuluze wamu nokutunda satifikeeti .
Omukubiriza wolukiiko lwa buganda owekitibwa Nelson Kawalya agambye embalirira yomwaka ogujja yakuteeka essira ku bintu ebiruma obuganda omuli ebyenjigiriza,ebyobulimi,wamu nebyobulamu.
Olukiiko lwakutandika ku saawa 4 ezokumakya