Skip to content Skip to footer

Okutimba enkalala z’abalonzi kutandise mu Jinja East

Bya Ben Jumbe.

Wano e Jinja agavaayo galaga nga akakiiko k’ebyokulonda leero bwekatandise okutimba enkalala z’abalonzi mu Jinja East nga eno wewagenda okubeera  okulonda okw’omubaka wa Parliament okw’okudibwamu,songa  okusunsulamu abagenda okuvuganya kwakutandika nkya. ate okulonda kubeewo nga 15th march

Abakulira akakiiko k’ebyokulonda mu kitundu kino batutegezeza nti okutimba enkalala z’abalonzi kugenda kumala enaku 10, olwo akakiiko k’ebyokulonda kalyoke kagabire abantu obukonge obulaga webagenda okulondera.

Twogedeko n’ayogerera akakiiko k’ebyokulonda  mu gwanga Jotham Taremwa, nasaba abalonzi beeno bonna okujumbira okukebera emanya gaabwe okwewala okuyombera munyiriri nga amanya gabwetegaliiko.

Kinajukirwa nti ekifo kyeno kyasigala kikalu oluvanyuma lwa kooti okugobaganya Nathan Igeme Nabeeta eyali omubaka ow’ekitundu kino.

Leave a comment

0.0/5