Skip to content Skip to footer

Gavumenti enenyezebwa

Bya Ivan Ssenabulya

Omukubiriiza wo’lukiiko lwa District ye Mukono Emmanuel Mbonnye ayambalidde gavumenti yakuno kumbeera yo’kugalawo amasomero go’bwanannyini ate nga gakoze kinene okusitula ekifanannyi kye’byenjigiriiza mu gwanga.

Mbonnye agamba nti omuze gwo’kugalawo amasomero gano guzingamya ebyenjigiriiza.

Ono awubudde ku kya gavumenti okuja omukono mu masomero go’bwananyini mwebadde eyita okuyambako abayizi abatesobola kyagamba nti kikyamu.

Leave a comment

0.0/5