Skip to content Skip to footer

Basse muganda waabwe lwa bintu

File Photo: Police nga ekola ogwayo
File Photo: Police nga ekola ogwayo

Poliisi e Mukono eriko ab’oluganda 4 b’eggalidde nga bateberezebwa okuba nga bekobaana okutta muganda waabwe bafune obugagga.

Abakwate kuliko Baliko Muhamadh, Mbidde Karidh, Kawere Abdul ne Nanyunja Violet nga batuuze be Mukono.

Bano kigambibwa batta muganda waabwe Ibrah Mbalangu nga 10 omwezi guno wali ku mugga Lwajjali e Goma Bukerere e Mukono.

Kiddiridde omusamize Adam Ssenfuma owe Gayaza okubasuubiza obugagga mbu alina eddagala lyakuwa bwoba ne ssente nezikubisibwamu.

Omuto ku bano, baliko kigambibwa bamufalasira nti asaddaake muganda we ssente ziwere amuwe eddagala.

Baamutta nebadduka, wabula bakwatiddwa e Nyenga nebaleetebwa e Mukono.

OC CID ku poliisi e Mukono Henry Ayebale  akakasizza okukwatibwa kw’abantu bano.

Wabula ye omusamize Ssenfuma yafiridde mu kabenje bweyabadde agezaako okutoloka mu mmotoka nga baleetwalibwa

Taata waboluganda bano omuto Hajih Buruhaani Mubiru aliko byatunyonyodde.

Leave a comment

0.0/5