Skip to content Skip to footer

Omubaka Namayanja bamulongoosezza

File Photo: Namayanja nga yogeera
File Photo: Namayanja nga yogeera

Omuwanika w’ekibiina kya NRM era omubaka omukyala ow’e Nakaseke  Rose Namayanja alongoseddwa era wakusibulwa mu wiiki nga 2.

Amyuka omwogezi wa NRM Rogers Mulindwa ategezezza nga abasawo nga bakulembeddwamu Isaac Kajja bwebalongosezza Namayanja nebamukubamu emisumaali wamu n’okugatta amagumba agaakutuse.

Okusinziira ku  Mbonye, eggumba ly’omukisambi lyakutuseemu emirundi 2.

Kati Mulindwa agamba Namayanja agenze akuba ku matu n’abalala beyabadde nabo mu mmotoka okuli omukuumi we bbo basiibuddwa.

Ye nyina  Catherine Namirembe naye akyali mu ddwaliro.

Wabula Mulindwa agamba nti ekya Namayanja okulwala ssi kyakukosa emirimu gyekibiina

Leave a comment

0.0/5