
Okuwulira omusango gw’ekibiina kya FDC gwebawawabira ssenkaggale wa poliisi, ssabawolereza wa gavumenti n’akakiiko k’ebyokulonda kwongezeddwayo.
Kino kiddiridde ssabawolereza wa gavumenti akiikiriddwa Edison Karuhanga okusabayo akadde okutegeka okwewozaako.
Mungeri yeemu bannamateeka ba Gen Kale Kayihura eyawawabirwa nga omuntu ssekinoomu bategezezza nga omuntu waabwe bw’ataweebwanga bbaluwa yonna ku musango guno.
Kati omulamuzi Benjamin Kabiito alagidde ssabawolereza wa gavumenti okutegeka okwewozaako kwe nga 26 omwezi guno telunayita omusango gutandike okuwulirwa nga 29 omwezi guno.
Ekibiina kya FDC kyakuba akakiiko k’ebyokulonda, ssabapoliisi Gen Kale Kayihura n’akakiiko k’ebyokulonda mu mbuga z’amateeka nga babalanga kulemesa nkungaana zaabwe nga betegekera okusunsula okwokubaawo nga 3 November 2015.