
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr. Kiiza Besigye atuuse e Bugiri wakati mu bukuumi obw’ekitalo.
Awerekeddwako ababaka okuli Nathan Nandala Mafaabi , Peter Mugema Panadol n’akulira oludda oluvuganya gavumenti Wafula Oguttu.
Poliisi eyiriddwa okwetolola ofiisi z’ekibiina nga bbo abawagizi bakyakyankya nga balinda ofiisi zaabwe okugulibwawo mu butongole.
Abaserikale ba poliisi badumirwa Afande Sam Omala era atagezezza nga bannakibiina kino bwebali ab’eddembe okuggulawo ofiisi zaabwe naye teri kukuba lukungaana.
Besigye ali mu kutalaaga buvanjuba bw’eggwanga nga era asuubirwa okukuba enkungaana e Bugiri, Tororo ne Busia.
Poliisi yasoose kuyiibwa mu maka ga Besigye okumulemesa okufuluma wabula oluvanyuma n’ekitegeerako nti yabade taliimu.