File Photo: Besigye nga wubiirako ku bawagizi be
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr. Kiiza Besigye atuuse e Bugiri wakati mu bukuumi obw’ekitalo.
Awerekeddwako ababaka okuli Nathan Nandala Mafaabi , Peter Mugema Panadol n’akulira oludda oluvuganya gavumenti Wafula Oguttu.
Poliisi eyiriddwa okwetolola ofiisi z’ekibiina nga bbo abawagizi bakyakyankya nga balinda ofiisi zaabwe okugulibwawo mu butongole.
Abaserikale ba…