
kya NRM
Abakulembera ekibiina kya NRM bakyalemeddeko nga eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi bwakyali memba w’ekibiina okuva bwekiri nti ali mu palamenti ku tikiti y’ekibiina kya NRM kale nga alina n’okwetaba mu ttabamiruka owa nga 30 October.
Nga ayogerako eri bannamawulire ku ku kitebe ky’ekibiina wali ku luguudo lwe Kyaddondo, amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kino Richard Todwong ategezezezza nti okugyako nga waliwo ekikyuuse, Mbaabzi alina okwetaba mu nteekateeka z’ekibiin’.
Todwong era agasseko nti ne mukyala wa Mbabazi ono nga ye Jacquelin Mbabazi alina okwetaba mu ttabamiruka kubanga ye ssentebe w’abakyala mu kibiina kino.
Ayongeddeko nga bwebasindise dda amabaluwa eri abagenda okwetaba mu ttabamiruka ono nga era abakungu abasoba mu 15000 okuva mu East Africa yonna basubirwa okwetaba mu ttabamiruka ono ow’ennaku 3 mu kisaawe e Nakivubo.