Skip to content Skip to footer

Ekya alipoota tekiri ku bigenda okutesebwako

Bya Kyeyune Moses

Obunkenke bweyongedde, ekya alipoota yakakiiko ka palamenti akamateeka essubirwa okwanjulwa olwaleero ku bye nnongosereza mu ssemateekaokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga bwekitalabikidde ku lukangaga lwebigenda okutesebwako akawungeezi kano, mu lukiiko lwe gwanga olukulu.

Alaipoota yakakiiko kamateeka akabadde kekennenya ebbago eryayanjulwa omubaka wa Igara West Rapheal Magyezi essubirwa okwanjulwa olwaleero, wabulanga abavuganya gavumenti nabo besomye obutetulako.

Bano bagamba bakuwakanya alipoota eno, gyebagamba nti ya kyekubiira kubanga akakiiko awamu kakasa ebbago lino mungeri yokuliwagira.

Bbyo ebyokwerinda binywezeddwa okwetoola palamenti, nga nababaka abamu balabiddwako nga batuuse dda.

Wabula waddenga ekya alipoota tekiri ku bigenda okutesebwako, kisubirwa nti eyinza okwanjulwa nga bwegwali ebbago lino bwelyali lisomebwa.

Leave a comment

0.0/5