Bya Benjamin Jumbe
Omubaka omukyala owa district ye Mitooma, Jovah Kamateeka asabye abantu babulijjo okusabira ennyo palamenti.
Bino bijidde mu kadde, nga alipoota yakakiiko ka palamenti akamateeka essubirwa okwanjulwa olwaleero ku nnongosereza eza ssemateka ku nnyingo 102b.
Bwabadde ayogerako naffe, omubaka Kamateeka agambye nti bann-Uganda mulimu gwabwe okusaba, ebintu bisobole okutambula obulungi, obutadda mu byaliwo jjolyabalamu mu lukiiko lwe gwanga olukulu.
