Bya Benjamin Jumbe
Ababaka banna-NRM bonna bayitiddwa okwetaba mu kafubo ak’enjawulo nga tebanagenda kukubaganya birowoozo ku kyakujja komo ku myaka gya mukulembeze wa gwanga, akawungeezi kano.
Olwaleero palaliment esuubirwa okukubaganya ebirowoozo ku alipoota yakakiiko akabadde kasengejja ebago lyokujja ekkomo ku myaka.
Amyuka ayogerera akabondo ka NRM Solomon Silwany agambye nti ensisinkano eno egendereddwamu yokukaanya ku byebagenda okwogera nebye balina okwewala.